Amakomera g’abaana:Ababaka baagala wassibwewo etteeka erikugira omujjuzo
Ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana n’abavubuka mu palamenti ki Parliamentary Forum on Youth and Children kyagala wassibwewo eteeka erikugira omujjuzo gw'abaama mu makomera g’abaana oba remand homes Bano bagamba nti amakomera g’abaana muggwanga lyona nti galina abaana abasuka mu 2,000 kyoka nga ebbago lye baagala lireetebwa lijja kuba lisobozesa abaana abalina emisango emitonotono okuweebwa ebinonereza ebisaamusaamu nga community service olwo kikendeeza omujjuzo. Bino biggyidde mu kiseera ng'eggwanga lyetegekera okukuza olunaka lw’omwana wa Ssemazinga wa Africa oba Day of the African Child ku sande ya wiiki eno.