Akamyufu ka NRM e Makindye:Abataweereddwa ssente bakesambye
Okulonda kw’akamyufu k’abanaakwatira NRM bendera ku bwa Loodi Meeya wa Kampala kwossa Meeya ne bakkansala b’eggombolola y’e Lubaga mu Kampala kubadde kwa kimpoowooze nga mu bifo ebisinga wadde nga waliwo n’ebitundu ebimu wekujjumbiddwa. Eky’omuwendo gw’abalonzi okuba abatono,waliwo abakitadde ky’okuba nti bangi ku beesimbyewo tebakubye bulungi kakuyege.