AKAMYUFU KA NRM: E Kiryandongo abatamatidde na bivuddeyo bawanda muliro
Godfrey Kiviiri ye yalondeddwa okukwatira NRM Bendera ku kifo kya Ssentebe w'ekyalo Kigomora ekisangibwa mu ggombolola ye Mutunda mu disitulikiti ye Kiryandongo. Okulonda kuno kwaddiddwamu eggulo oluvannyuma lw'emirundi esatu nga kuyiika olw'emivuyo egyenjawulo. Poliisi yayungudde basajja baayo abawanvu n'abampi okukuuma emirembe mu kulonda kuno akalulu kasobole okutambula obulungi.