AKALULU MU OMORO: Aba NUP bakukkulumye, akakiiko k’ebyokulonda kabaanukudde
Akakiiko k'ebyokulonda kagamba nti ketegese ekimala okulaba nga okuddamu okulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Omoro County kutambula bulungi olunaku lwenkya.
Bano bagamba nti ebikozesebwa mu kulonda byatuuse dda mu kitundu kino. Ate bo Abebyokwerinda nabo basabye abantu be Omoro okusigala nga bakakkamu mu kulonda kuno.