AKALULU KU LUTALO MU UKRAINE: Uganda eyogedde lwaki teyakeetabyemu
Eggulo Uganda yeebalamye okukuba akalulu mu lukiiko lw’amawange amagatte akuvumirira Russia okulumbagana Ukraine mu lutalo oluwezezza wiiki emu. Abantu boogedde okuli n’abamu abeewuunyizza obutiitiizi bwa Uganda ku nsonga nga zino. Abakulu mu minisitule ya Uganda ey'ensonga ez’ebweru baliko bye boogedde