AKALULU KA KAWEMPE NORTH: Namwandu Wa Ssegirinya yeegasse ku Nalukoola
Mukyala w'eyali omubaka wa Kawempe North Muhammed Ssegirinya Kati omugenzi avuddeyo n'alangirira nga bwe yeegasse ku munamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola okumuwagira ku kifo ky'okubaka w'e kitundu kino. Ono agamba nti oluvannyuma lw'okukizuula nti ebigendererwa bya Nalukoola bikwatagana bulungi n'ebyomugenzi yasazeewo bakolere wamu. Naturinda Ssegirinya akwasiizza Nalukoola ebitabo byonna omugenzi mweyajja Manifesto ye eyamuyambako okutuukiriza ebiruubirirwa bye.