AKAKIIKO K’EBYOKULONDA: Robert Kibirige Ssebunya ne Anthony Okello bacacanca
Pulezidenti Museveni nga akozesa obuyinza obumuweebwa ssematteeka aliko abantu bana (4) baaloze okwegatta ku kakiiko k’ebyokulonda , oluvannyuma lw'abantu abalala ababadde ku kakiiko kano ebisanja byabwe okuggwako . Mubalondeddwa okwegatta ku kakiiko kwekuli Dr. Sallie Simba omusomesa ku yunivaisite e Makerere , eyaliko omubaka wa Munisipaali ye Nansana Robert Kibirige Ssebunya , eyaliko omubaka wa Kioga Anthony Okello n'abadde akola nga akulira ebyemirimu mu kakiiko k'eby'okulonda Pamela Etonu Okudi . Museveni era ayongezzaayo ekisanja ky’akulira akakiiko kano omulumuzi Simon Byaabakama , omumyuka we , Hajjat Aisha Lubega saako kamisoona Steven Tashobya . Abatakomyewo nga ebisanja byabwe byaweddeeko kwekuli Justine Ahabwe Mugabi , Nathaline Etomaru, Al Hajj Ssebagala Kigozi ne James Peter Emorut.Amannya g'abalondeddwa gamaze okusindikibwa ewa sipiika nga basigadde kusunsulwa . Miniista w'ebyamatteeka Nobert Mao agamba nti abalina okwemulugunya ku balondeddwa balina kuddukira mu kakiiko ka palamenti akabasunsula.