AKABIINA K’ABAYEEKERA: Poliisi egamba yaakakwata 29
Poliisi eriko abantu abalala 21 beyakutte ssabiti ewedde nga bagambibwa okubeera n’akakwaate n’akabinja k’abayeekera akapya ak’eyita Uganda Coaliation of Change. Bano begase ku 8 abasooka okukwatibwa okuweza omuwendo gw’abantu 29, ku bigambibwa nti bebali emabega w’obulumbaganyi obuzze bukolebwa ku poliisi ez’enjawulo n’emundu z’abakuuma dembe nezitwalibwa.