AKABENJE KA BBAASI YA LINK: Abaana 3 baziikiddwa lumu, nyabwe akyali mu ddwaliro
Abaana basatu nga ba nnyumba emu baziikiddwa olwaleero mu distulikiti ye Bundibugyo .Bano nga omu wa myaka 13 , omulalala wa myama munaana n'owemyaka ebiri nekitundu bafiiridde mu kabenje ka baasi ya Link eyagudde e Kabalore wiiki eno. Maama w'abaana bano ali mu ddwaliro e Fortportal olw'ebisango. byeyafuna mu kabenje keekamu.