AKABENJE E MPIGI : Omuyizi afudde , mukaaga bali ku bisago
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga n’abalala nebatwalibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e masaka enkya ya galeero.Akabenje kano kagudde Kavule era kigambibwa nti ddereva wa noah abadde aduuka obuweewo ayagadde okuyisa takisi emubadde mu maaso nasangayo fuso gyebambalaganye nayo.