AKABENJE E KAKIRA E JINJA: UPDF egamba abaserikale baayo bakubye ku matu
Amagye gategeezezza nga abaserikale baago 19 abafunye akabenje olunaku lweggulo e Kakiri mu Jinja bwebakubye ku matu . Amyuka omwogezi wa Magye Col Deo Akiiki agamba nti baserikale ekkumi abaasinze okulumizibwa mwenda kumpi bateredde nga omu yakyalumizibwa ennyo . Abaserikale 26 beebabadde ku mmotoka y'amagye nga bava kusoma ku ttendekero ly'ebyemikono erisagibwa ku Crested cranes Hotel e Jinja , nga kubano 19 bebaafunye obuzibu , kyokka nga abasinze okulumizibwa babadde kumi.