AFCON W’ABALI WANSI W’EMYAKA 20: Obuwanguzi bwa hippos buwadde omutendesi mayanja amaanyi
Omutendesi wa ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20, Jackson Mayanja agamba nti baakwongera okuzimbira ku buwanguzi bwe baafunye ku ggwanga lya Central African Republic okulaba nga bakiika mu mpaka za World Cup w'empaka zino.
Uganda Hippos eri mu kibinja B omuli South Sudan, Congo Brazaville ne Central Africa Republic Uganda nga kati yeekulembedde ekibinja.