Abazadde b'omwana eyabuze basattira, poliisi ebiyingiddemu
Poliisi ebakanye n’omuyiggo gw’okuzuula omwana ow’emyaka esatu n’ekitundu eyabuziddwawo ku Kyalo Kiwatule mu zone ye Balintuma ku lwokuna lwa wiiki eno. Okusinziira ku batuuze mu kitundu kino omwana yabuzibwawo omusajja atannategeerekeka agambibwa okuba nti yamuggya mu maka ga bazadde be abataaliwo mu kiseera ekyo.