Abawangaalira mu nkambi ye Muhokya baagala gav’t ebafunire ettaka kwe badda
Embeera y'abantu abawangaalira mu nkambi eyeekiseera eyassibwa ku kyalo muhokya mu disitulikiti ye kasese okubudamizaamu abantu abaali bakoseddwa amataba, tewoomya nakabululu . Bano batubuulidde nti emmere gavumenti gyetera okubawa erwawo nnyo ate nga tebalina ttaka webalimira mmere yaabwe. Kati waliwo ekitongole ekirwanirira obutonde bwensi ekiyitibwa Abayuti, ekipangirizza abantu bano ettaka bagire nga balimirako emmere enyangungu okusobola okwebezaako .