ABATTA JOAN KAGEZI: Okunoonyereza kuwedde
Kkooti esookerwako e Nakawa etegeezeddwa nga okunoonyereza ku by'okutta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi okwaliwo mu 2015 bwekuwedde.Amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Thomas Jatiko ategeezezza kkooti nga bwebetaaga okutuuka nga 11 December omwaka guno okutunula mu bujjulizi obukunganyiziddwa, basobole okubufunza olwo bategeka empapula ez’okusindika abakwate nga bano bali bana (4) mu kkooti enkulu batandike okwewozaako.Kinajjukirwa nti nga mukaaga November, Kisseka Daniel Kiwanuka nga akola gwakwokya manda okuva ku kyalo Nsanvu e Kayunga , Kibuuka John ne Nasur Abudallah Mugonole nga bano basingisibwa dda emisango emirala era nga bali mu kkomera , saako Masajagge John nga ono naye musibe ali e Kitalya baasimbibwa mu kkooti nebaggulwako emisango gy'okutta Joan Kagezi.Kagezi weyattirwa yeyali akulembeddemu oludda oluwaabi mu misango gy'obutujju egyali givunaanibwa abantu 14 nga bano basingisibwa dda emisango gy'okutega bbamu mu Kampala mu 2010.