Abantu basatu bafiiridde mu kabenje e Mityana
Abantu basatu bafiiridde mu kabenje ku kyalo Kigalama ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende mmotoka y’ekika kya drone bw’etomedde pikipiki kwe babadde batambulira. Poliisi ekakasizza nga ababiri ku bafudde babadde baaluganda ate basatu ku bantu omunaana ababadde mu mmotoka bafunye ebisago eby’amaanyi.