ESSAZA LY’E FORTPORTAL: Ebikwata ku bategesi mu Bakatuliki
Essaza Fort Portal, eryakwasiibwa obuvunaanyizibwa okutekaateka emikolo gy’e Namugongo ku ludda lw’abakatuliki, liri kitundu ku Ssaza ekkulu ery’e Mbarara.Olusozi okuli lutikko yaalyo luyitibwa Vilika era nga bw’oba teweegenderezza nnyo oyinza okulowooza nti kigambo kya lulimi Olulattini olw’enjatula yaakyo.Olwaleero, tugenda kuyingira munda mu ssaza lino, oyongere okulimanya, n’ebyafayo byalyo nga bwebyeruka.