ABABONAABONERA KU KYEYO: Minisita w’ekikula ky’abantu aliko akakiiko k’ataddewo
Gavumenti yaakuno neya Saudi Arabia zikkiriziganyizza okuteekawo akakiiko k’ebyekikugu akaawamu okukola ku bizibu byabannayuganda abakolera mu Saudi Arabiagamba nga okutulugunyizibwa nokulyazamanyizibwa . Minisita w’ekikula ky’abantu Betty Amongi atutegezezza nga akakiiko kano bwekagenda okukola nekukwemulugunya kw’abakozi abaatwalibwa kampuni zaakuno azaatekebwako envumbo yokutwala abakozi mu ggwanga eryo. Wabula aba minisitule eno tebamuse bulungi bwekituuse ku nsonga y’okuggyamu bannayganda ebitudu byabwe ebyomunda nga bwekitandise okweyolekera ku bannayuganda abamu abatandise okwekubira enduulu.