Ababbi banyaze ensimbi mu supermarket, basse abadde abalemesa
Waliwo omuntu omu attiddwa mu bunyazi obukoleddwa ku Supermarket eyitibwa A and B Shoppers esangibwa e Namugongo Obunyazi buno bubaddewo wakati w’essaawa essatu n’ennya ezekiro ekikeesezza leero. Poliisi etandise okunoonyereza okuzuula abaabadde emabega w’obunyazi buno.