Ababaka ba EALA bawagidde ekya Uganda okugenda e Congo
Ababaka mu palamenti y’omukago gwa East Africa bawagidde amaggye ga Uganda okulumba abajambula ba ADF mu gwanga lye Congo. Bano bagamba oba olyaawo kinayambako okukendeza ku bikolwa eby'obutuju abajambula ba ADF byebatuusa ku bantu babulijo.