Abaatemuddwa e Kagadi baziikiddwa, abaabasse tebaziikiddwa ku kiggya
Abantu ekkumi ab'enju emu abafiiridde mu kasambattuko akaaliwo mu kiro ekyakeesa olw’okusatu e Kagadi baziikiiddwa. Abavubuka babiri okuli Obedi Baguma ne David Munyirambe be baalumbye abooluganda lwabwe munaana nebabatemaatema nga babalanga kugaana kwegatta ku kidiinidiini kyabwe kye baagunjaawo nebakituuma GOD HOLY SPIRIT SON OF MAN. Abakulembeze mu kitundu kino balabudde abantu okuwawaabira abantu abatandikawo enzikiriza ezitawandiisiddwa babuyiinza.