Abaasimattuse enjega ye Bulambuli bakukkuluma
Oluvannyuma lw’enjega y’okubumbulukuka kw’ettaka eyabadde mu disitulikiti ye Bulambuli, amaka agasoba mu 30 gaabudamiziddwa ku ssomero ly’e Bunambutye naye bakyawanjaga olw’obutaba na bintu nga emmere, emifaliso, obutimba bw’ensiri, engoye n’ebifumba okusobola okugira nga bakuumirawo obulamu. Bano kino kyongodde okukalubya obulamu olw’ebbula ly’ebintu bino ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.