ABAANA MU MIRIMU GY’ENSIMBI: Nnamba y’abaana abagyenyigiddemu yeeyongedde
Embeera y'ebyenfuna eyeekanamye etunuuliddwa ng'emu ku nsonga ezireetedde abaana abato okweyongera okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi. Gavumenti kati erowooza ku kyakuttukiza kusomesa bannansi ku kabi akali mu kukozesa abaana emirimu gino kubanga gibafiiriza ebiseera eby'omumaaso. Leero Uganda lweyeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw'okulwanyis ebikolwa by'okukozesa abaana emirimu gy'ensimbi era ng'emikolo giyindidde mu disitulikiti ye Kabarole