ABAANA ABAAFIIRIDDE MU MULIRO: Nannyini ssomero n’omulambuzi w’amasomero poliisi ebayise
Tutegedde nti poliisi eyise nannyini ssomero lya New Crest Junior School n'alondoola amasomero mu division ye Kawempe babeeko bye banyonyola ku muliro ogwakwata ku eryo ssomero ne gufiiramu abayizi bana. Poliisi egamba nti waaliwo obulagajjavu ku ludda lw’abaddukanya essomero. Essomero n’olwaleero likyali liggale era okunoonyereza kukyagenda mu maaso