Abaakwatibwa olw’ebijambiya e Masaka bagire nga bateebwa - Katikkiro Mayiga
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye gavumenti okugira nga eyimbula abantu abakwatibwa ku bijambiya e Masaka omuli n'ababaka ba Palamenti okutuusa nga okunoonyereza kuwedde. Katikkiro abadde mu Lutikko e Kitovu nga yetabye mu kutendereza kwa Ssekukkulu.