Ab’empuuta beetonze ku ky’okugitunda ebweru nga bannansi tebagiriddeko
Ab’ekibiina ekigatta okulongoosa n'okutunda ebyennyanja aba Uganda Fish Processors and Exporters Association beetondedde bannayuganda ku bigambo byebaayogera ku ky’empuuta okusigalira okutundibwa ebweru w’eggwanga bangi kyebavumirira nti baagala kulemesa bannayuganda kulya ku muwuula. Bano bagamba baafunibwa bubi kubanga ddembe lyabuli munnayuganda okweliira ku mpuuta nga tenatundibwa wabweru wa ggwanga.