Poliisi erumirizibwa okutta dereeva wa mmotoka
Waliwo famire ekkukulumidde Poliisi mu distulikiti ye Kazo nga egamba nti yakubye omuntu wabwe nga dereeva wa mmotoka ekyamutuusiza okufa bweyabadde ekwasisa ebiragiro by'okwetangira ekirwadde ki Covid-19 Emmanuel Mukama kigambibwa nti yakubwa abaserikale ba poliisi mu kiro kyolw'okusatu wiiki. Mukyala we Nabasa Mukama agamba nti bba yamusanga mu kaduukulu ka poliisi naye nga embeera gyalimu ssi nnungi era naddusibwa mu ddwaliro lye Mbarara kyokka baali bakamutuusa nakutuka. Kati ab'oluganda lw'omugenzi bagumbye ku poliisi Rwizi nga baagala bwenkanya . Samson Kasasira, omwogezi wa poliisi mu kitundu kino agamba bali mu kunoonyereza.