Okuvugira ku sipiidi 30 tukigezesezza okulaba oba kinaakola
Oluvannyuma lwa Gavumenti okutandika okuteekesa mu nkola amateeka agakugira abagoba b’ebidduka eby’enjawulo okuvuga endiima, bangi ku bagoba bagamba okuvuga sipiidi ezibagambibwa mu bitundu eby’enjawulo kizibu era ebibonerezo bya kubagoba ku mirimu.Baagala baddeyo ku nkola enkadde ebaddewo. Waliwo n’ebibuuzo ebikwata bibonerezo abagoba bye bakyebuuza omuli n’ebikwata ku by’okwerinda.Tutambuddeko ku nguudo okugezesa engeri sipiidi ezaateekeddwawo gye ziyinza okutuukirizibwamu.