OKUSAANYAWO EBIBIRA:Eky’e Kitubulu kinatera okuggwawo
Abakulembeze Entebbe basimbidde ekkuli ekitongole ky’ebibira ekya National Forest Authority ebibadde kyagala okuwaayo ekibira kye Kitubulu kizimbibwemu wooteli n’ebifo ebirala ebisanyukirwamu. Kino kiddiridde aba NFA okuwaayo ebbaluwa eri aba Town Council y’e Entebbe nga ebasaba aba Dawn Enviro Consult bakkirizibwe okuzimbamu mu kibira kino. Ab’e Entebbe bakulembeddwamu Mmeeya Fabrice Rulinda mu kusimbira enteekateka eno ekkuuli.