OKUKYAZA MUSEVENI MU KAMPALA :E Lubaga basiibye mu ketereekerero, Lukwago agamba teyategeezebwa
Enteekateeka z’okwaniriza Pulezidenti Museveni mu division y'e Lubaga olunaku olw’enkya zigyidwako engalo era ng’abakulembeze leero basiibye mu keetalo nga beteekateeka.Museveni waakusookera ku katale k'e Busega gyagenda okusisinkanira abasuubuzi n'oluvannyuma ayolekera Kibumbiro okulambula engeri abeeyo gye baganyuddwa mu nkola ya PDM.Kyokka Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago agamba nti obugenyi bwa Museveni businze kwesigamizibwa ku byabufuzi kubanga enfunda nnyingi aliko by’asuubiza BannaKampala naye nga ne gyebuli eno mpaawo birabwako.Ono era agamba nti woofiisi ye teyategeezeddwa ku byakukyala kwa mukulembeze w'egganga .