NAZZIKUNO :Laba engeri gye baakolanga ekitanda ekyayitibwanga kkomerera
Abatonnye kunsi mukyaasa kino ekya 2000 bw’omubuulira nti twassulako ku kitanda kya kkomerera akuyita muliimba. Ekitanda kino b’ajjaja ffe kwebasuulanga, nga embugo zezikola nga esuuka mukissera kyekimu nga kekalangiti kebeebika okubuguma.Kyoka w’etutuukidde mukyaasa kino nga okusaanga amaka omukyaali ekitanda kya Kkomerera oyisaako ekibatu mumaaso olwokuba kati byadibizzibwa dda netudda kubitanda ebyenkondo ebigonddeza abaangi obulamu.Mu Nazzikuno waffe olwaalero tukuzzizaayo olabe ekitanda kino enkola gy’ebakikolangamu kubanga kyo tekyaali kyakubajja anti n’ebyeyambisibwa mukubajja nabyo tebyaaliwo .