Poliisi eremesezza olukungaana lwa Zaake, egamba teyatuukirizza misoso
Poliisi e Mityana erinnye mu lukungaana olubadde lutegekeddwa omubaka wa Munisipaali ye Mityana Francis Zaake okukunga obuwagizi mu bannakibiina ki NUP asobole okukikwatira bendera mu kalulu ka 2026 ku kifo kino kyennyini.Poliisi egamba nti Zaake ono aliko emisoso gyataatuukirizza nga kwe basinzidde okumugaana okugenda mu maaso n’enteekateeka ze.Bino w’ebiggyidde ngakulira oludda oluvuganya kyajje yeemuluguye ku ngeri ya kyekubiira gye kwatamu ensonga z’ebyobubufuzi wakati w’aboludda oluvuganya n’abali mu kibiina ekiri mu buyinza ki NRM.