E Ntebe aba Fly Express baagala bwenkanya
Abagoba ba takisi abeegattira mu kibiina ki FLY ENTEBBE EXPRESS bakukkulumidde Poliisi olwokuyimbula ekibinja kyabagoba ba takisi abakolera mu paaka y'e Kitooro ekyabakolako obulumbaganyi gye buvuddeko. Mu bulumbaganyi buno mmotoka z'abano eziwera zaayononebwa nga kati bebuuza ani agenda okusasulira ebyokuzizzaawo nga abaazoonona bamaze okuyimbulwa . Poliisi nayo eriko byetangaazizza ku nsonga zino.