LWAKI EBIRIME BIVA BWERU? :Abasuubuzi mu Kisenyi boogedde kwekivudde
Ensangi zino abasuubuzi mu uganda bettanidde nnyo okusuubula ebirime ebiva e bweru w’e ggwanga, kyoka nga ebimu ku bbyo ne mu ggwanga lyattu Uganda mwebiri.Abasuubuzi bagamba nti ekibakoza kino gwe mutindo gw’ebirime bya Uganda okubeera wansi , songa n’obutono bikyali bitono - tebiyinza kumatiza katale kaliwo. Tulondodde ensonga eno, okumanya omutawaana we guva.