AKALULU KA 2026:Abavubuka e Toro ne Kasese beeyamye okwettanira emirembe
Abavubuka okuva mu bibiina by’obufuzi ebyenjawulo mu bitundu bya Rwenzori ne Tooro beeyamye okukuuma emirembe mu kulonda kwabonna okubindabinda. Bino bibadde mu disitulikiti ya Kasese mu lusilika olwategekeddwa aba Multiparty Youth Forum abaagala abavubuka okwewala okukozesebwa banabyabufuzi okutukiliza ebigendelerwa byabwe.