‘NZE MBITIDDE’; Joyce Nabbosa akalulu kamweraliikirizza
Meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebugwaawo ategezeezza nga ye eby'okuwenja akalulu bw'abitidde olw'embeera egenda mu maaso mu ggwanga. Nabbosa agamba engeri gy'alaba poliisi eyisaamu abavuganya ku bwa pulezidenti etiisa mbu ate bwekinatuuka ku ye ali ku kifo kya wansi bajja kujooga ne tteke basambe. Ono asabye abakulu mu bitongole ebikuuma-ddembe beddeko olwo abesimbyewo beeyagalire mu demokulasiya.