NIRA ekunze bannayuganda okuloopa ababaggyako ssente
Ekitongole ki NIRA kiraze obweraliikirivu olw'abazadde obutajjumbira kuwandiisa baana baabwe mu nteekateeka gavumenti gy'eriko okuzza obujja n'okugaba endagamuntu eri abo abatafunangako.Bano bajjukiza abazadde nti entekaateka eno nkulu nnyo era nga tewali agwanye kulekebwa bbali.Bano batubuulidde nti baliko n'ababadde basaba abantu ekyojamimiro bebaagombyemu obwala.