‘Mutuwe ssente zaffe’ Eza PDM waliwo beziggye mu mbeera
Abatuuze b'omuluka gw'e Nyantabooma mu district y'e Kabarole bavudde mu mbeera ne balumba ssentebe w'eggombolola y'e Harugongo abannyonnyole bulungi lwaki bbo tebafunanga ssente zaabwe ez'okwekulakuulanya oba PDM.Bano balumiriza nti abavunaanyizibwa ku nsimbi zino basusse okubabuzaabuza nga babalimba nti ensimbi zatuuka dda mu bbanka wabula baagenze okutuukayo nga bakwata mu lya mpiki.Abavunaanyizibwa ku nsimbi zino bagamba nti wakyaliwo obuzibu ne bbanka naye ng'ensimbi bano zakubatuukako akadde konna.