Minisita Ogwang ayagala okunoonyereza okw’enjawulo ku ssente z'omuwi w'omusolo e Wakiso
Minisita omubeezi alondoola eby'enfuna bweggwanga Peter Ogwang awandiikide omubaliririzi webitabo bya Gavumenti okunonyereza ku ssente z'omuwi w'omusolo mu distulikiti ye Wakiso. Kino wekiggide nga Ogwang kati amazze kumpi wiiki biiri nga atalaga polojekiti za gavumenti mubitundu ebiwera mu Wakiso era nga abantu abawerako bakwatiddwa.
Ono olwaleero abadde mu bitundu by'eNtebbe era nga abakungu ba disitulikiti babiri bakwatiddwa.