Fausta Nalweyiso wuuno aganyuddwa mu PDM Museveni gw’agenda okulambula
Fausta Nalweyiso ow'emyaka 69 omutuuze w'e kibumbiro A mu muluka gwe Busega mu divizoni ye lubaga, yomu ku bannakampala baganyuddwa mu nteekateeka ya Parish development Model eyatekebwawo gavumenti okulaba nga bannayuganda bejja mu bwavvu.Ono y'omu ku bannamukisa omukulembeze w'eggwanga bagenda okukyalirako mu kutalaaga okwennaku ettaano kwagendako mu bitundu bya Kampala okutandika n'olunaku lw'enkya Ngakozesa ensimbi za PDM, Nalweyiso asobodde okutumbula ennyingiza ye era ng'essira yaliteeka ku kulunda mbizzi Baker ssenyonga Mulinde alina ebisingawo.