Embeera z’abakadde: Ab’e Nalukolongo boogedde ebibanyiga
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi agamba nti tekimala kubeera na babaka abakiikrira abakadde mu palamenti nga tebatuusa nsonga za bannaabwe enkulu na ddala ku by'obulamu bwabwe n'akasiimo akabaweebwa gavumenti ak'omunyoto.Senyonyi bino abyogedde akyaddeko mu maka ga Mapeera Kateyamba agasangibwa e Nalukolongo gy'abadde agenze okulaba ku mbeera abakadde abaliyo gye bawangaliiramu.Bbo aba abakulu abaddukanya ekifo kino bagamba nti balina obuzibu bw'eddagala eriwebwa abakadde bano singa baba balwadde.