“Ebyobufuzi ssi lutalo”, Kaziimba akunze bannayuganda okwettanira emirembe
Ssaabalabirizi wa Uganda Samuel Stephen Kaziimba Mugalu avumiridde ebikolwa by’effujjo ebyeyolekedde mu kamyufu ka NRM ku bifo byababaka bapalamenti egyaviiriddeko n’abamu okulugulamu obulamu.Kazimba agamba nti buvunanyizibwa bwabuli munnayuganda okulaba nga wabaawo emirembe mubiseera by’okulonda. Ono abade akulembedemu okusaba ku Kkanisa ya St. Thomas e Kira .