EBYA MUNNAMAWULIRE WA NUP:Ekibiina kirumiriza ab’ebyokwerinda okumuwamba
Aba National Unity Platform bavuddeyo ne balumiriza ebitongole byokwerinda olwokubuzaawo Munamawulire waabwe amanyiddwa nga Swabura Owomukisa. Ono yabuzibwawo ku lwokubiri lwa wiiki eno mu bitundu bye Busega Poliisi egamba nti yafunye omusango gw'okubuzibwawo kwa Owomukisa wabula netegeeza nti tali mu mikono gyayo .