David Kabanda eby’okunoonya akalulu abayimirizza
Omubaka wa Kasambya mu disitulikiti ey’e Mubende David Kabanda, agamba nti yayimirizza okuwenja akalulu ke ak’akamyufu mu kibiina ki NRM okutuusa nga okulonda kuwedde.Ono agamba nti emivuyo egirabikidde mu kalulu mu kitundu kye gye gyamuviriiddeko okusalawo atyo mbu nga abantu be batulugunyiziddwa ekimala.Kabanda era ayagala n'okunoonyeza awamu akalulu mu kitundu kye kikome kubanga emivuyo gyandisigala nga gigenda mu maaso.Tubadde naye mu mboozi ey'akafubo.