AMAFUTA AGATALI KU MUTINDO: Ab’ekitongole ky’omutindo balabudde abagatunda
Ab’ekitongole ekirondoola omutindo gw'eby’amaguzi bakwataganye ne minisitule y'amasannyalaze n'obugagga obw’ensibo, okusomesa abagoba b’ebidduka engeri gye bayinza okukakasa nti amafuta ge bateeka mu bidduka gali ku mutindo ogulagirwa. Abakulu basookedde Hoima omuze ogw’okutunda amafuta agatabvuddwamu ebintu ebirala gye gusinga mu kiseera kino.