Abavubi ba mukene bazzeemu okuwanjagira amagye
Yadde nga baaweebwa ennaku bbiri okuvuba basobole okuzza abaana ku masomero, abavubi ba mukene ku mwalo gw’e Lambu bazzeemu okuwanjagira amagye agavunaanyizibwa ku by'envuba okuboongerayo omukisa omulala nga bagamba nti ennaku ezabaweebwa ntono nnyo Bino babyogeredde mu lukiiko olwayitiddwa omubaka wa Bukoto East Evans Kanyike olw’okumanya obulumi abavubi bwe bayitamu ku nnyanja.Abavubi baatuuse okweyawulamu nga eriyo abaabadde batya okwogera ku bikolobero ebikolebwa amagye nga abalala baabadde baagala byasanguzibwe.