Okutumbula ebitone; ekibiina ky’e misinde kikubye olusiisira mu Arua ne Gulu
Ekibiina ekifuga emisinde mu ggwanga ki Uganda Atheletics federation kitandise okutendeka abaddusi mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo. Bano batandise enkambi ez'enjawulo mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu kyokka ng'essira basinze kuliteeka ku baddusi b'emisinde egy’embiro ennyimpi emimpi.