OKUGULIRIRA EMIPIIRA: Etteeka empya lirimu ebibonerezo ebikakali
Okwawukanako ne bwegubadde okugulirira mu mupiira kwakutwalibwa ng'omusango ogwannaggomola okuli n'ebibonerezo by'okukaligibwa mu nkomyo. Ensonga eno erambikiddwa mu bbago ly'etteeka erirungamya enzirukanya y'emizannyo egyenjawulo mu ggwanga eryayisibwa palamenti gyebuvuddeko Pulezidenti w'ekibiina ekifuga omupiira mu gwanga, Moses Magogo agamba nti alina essuubi nti kino kyakubayamba okulwanyisa omuze guno ogwolekeddwa okwonoona omuzannyo gw'omupiira.