LIIGI Y’OMUPIIRA GW’ABAKYALA : Enkya lw’eddamu She Mak yeesunze She Corporates
Liigi y'eggwanga ey'omupiira gw'abakyala eddamu okutojjera olunaku lwenkya. She Corporates abalina ekikopo kino beebagenda okuggulawo nga bakyalira kkiraabu ya Makerere University eya She Mak e Makerere. She Corporates bamalirivu okweddiza ekikopo kino kyokka nga n'aba She Mak nabo kati batunuulidde kwenywereza mu liigi.