Empaka z’amasaza: Ibrahim Kirya yagenda okutendeka Busiro
Oluvannyuma lw’okukakasibwa ku butendesi bw’essazza lya Busiro, omutendesi Ibrahim Kirya ategeezezza nga bw’agenda okussa essira ku kunoonya abazannyi abanaayamba essaza lino okwedizza ekikopo ky’amasaza kye baawangula omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okukuba Buddu . Empaka z'omulundi guno z'akuggyibwako akawuuwo nga ennaku z'omwezi 24 omwezi ogujja.